1 Samuel 25:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abigayili n'ayita mu byangu, ne yeebagala endogoyi, n'awerekerwako abazaana be bataano, n'agoberera Dawudi be yatuma, n'afuuka mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abbigayiri n’ayanguwa okwebagala endogoyi, ng’awerekeddwako abaweereza bataano, n’agenda n’ababaka ba Dawudi, n’amufumbirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'asituka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano (5) abaamuweerezanga; n'agoberera ababaka Dawudi be yatuma, n'aba mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abigayili n'ayanguwa n'asituka, ne yeebagala endogoyi. N'agenda n'abaweereza ba Dawudi, ng'awerekerwa abaweereza be bataano. Abigayili n'afuuka muka Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'agolokoka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano abaamugobereranga; n'agoberera ababaka ba Dawudi, n'aba mukazi we.