1 Samuel 25:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawulidde nti abamwa endiga ebyoya bali wuwo. Abasumba bo bwe baali naffe mu ddungu, tetwabasobezaako, ebbanga lyonna lye baamala e Karumeli tewali kyabwe kyababulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mpulira nti ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era n’ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga; abasumba bo balinga naffe era tetwabakola kabi konna, so tewaali yabulwako kintu kyonna, ebiseera byonna bye bamala e Kalumeeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga. Abasumba bo babadde naffe, ne tutabakolako kabi konna. Era ekiseera kyonna kye baamala e Karumeeli, tewaali kintu kyabwe na kimu kyababulako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga: abasumba bo nno baabanga naffe ne tutabakola bubi, so tewaabanga ekyababula, ebiro byonna nga bali e Kalumeeri.