1 Samuel 25:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buuza abaweereza bo, bajja kukutegeeza. Kale nno abalenzi bano basange ekisa mu maaso go, kasita ekiseera bazze mu kirungi; kyonna omukono gwo kye gunaaba gusangirizza, kiwe abaweereza bo ne mutabani wo Dawudi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera eky’okukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna ky’olinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buuza abalenzi bo, banaakubuulira, kale abalenzi bange balabe ekisa mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olw'embaga; waayo nkwegayiridde waayo kyonna kyonoosobola eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buuza abavubuka bo, bajja kukubuulira. Kale nno naawe, okwatirwe abavubuka bange ekisa, kubanga tujjidde ku lunaku olw'okujaguza. Nkwegayiridde, kyonna ky'osobola okiwe abaweereza bo, era nange mutabani wo Dawudi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buuza abalenzi bo, banaakubuulira: kale abalenzi baganje mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olulungi: waayo, nkwegayiridde, kyonna ekinajja mu mukono gwo eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.