1 Samuel 25:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba Dawudi bwe bajja, ne bagamba Nabali ebigambo ebyo byonna mu linnya lya Dawudi, ne balinda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalenzi ba Dawudi bwe batuuka ne bategeeza Nabali ebigambo byonna Dawudi byeyabatuma, ne basirika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubuka ba Dawudi bwe baatuukayo, byonna ne babibuulira Nabali, nga Dawudi bwe yabibatuma, ne balinda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalenzi ba Dawudi bwe bajja, ne boogera ne Nabali mu linnya lya Dawudi ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri, ne basirika.