1 Samuel 26:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, Omukama alimutta; obudde bwe bulituuka n'afa, oba aliba akkiridde mu lutalo gy'alisaanyizibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama nga bw’ali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka n’afa, oba aligenda mu lutalo n’azikiririra eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikiririra eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi era n'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta, oba entuuko ze ez'okufa ze zirituuka n'afa, oba aligenda mu lutalo n'afiirayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu Mukama ye alimutta oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikirira.