1 Samuel 26:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'akwata effumu n'ensumbi y'amazzi eyali emitwetwe wa Sawulo, ne bagenda. Tewaaliwo n'omu yalaba wadde eyatunula, era tewaali yazuukuka, kubanga Omukama yali abeebasizza otulo tungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya okumpi n'omutwe gwa Sawulo; ne bagenda, so tewali muntu eyakiraba newakubadde eyakimanya, so era tewali eyazuukuka; kubanga bonna baali beebase; Mukama yali abeebasiza otulo otungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi, ng'abiggya kumpi ddala n'omutwe gwa Sawulo, ne bagenda. Tewaali n'omu eyalaba kino oba eyakimanya, wadde eyazuukuka, kubanga bonna baali beebase nnyo. Mukama ye yabeebasa otulo otwo otungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko.