1 Samuel 26:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asomoka, n'adda ku luuyi olulala, n'ayimirira ku lusozi waggulu nga yeesuddeko akabanga, mu makkati gaabwe nga waliwo ebbanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma Dawudi n’asomoka n’agenda emitala, n’ayimirira walako ku ntikko ey’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira ku ntikko y'olusozi; nga abeesuddeko ebbanga ddene:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi, ng'abeesuddeko ebbanga ddene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi; nga yeesuddeko nabo ebbanga ddene: