1 Samuel 26:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo ky'okoze si kirungi. Nga njogera amazima mu maaso g'Omukama, ggwe ne basajja bo mugwanidde kufa, kubanga temwakuumye mukama wammwe, omusiige w'Omukama. Mulabe, effumu lya kabaka n'ensumbi ye ey'amazzi ebimubadde awo emitwetwe biri wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino ky'okoze si kirungi! Nga Mukama bw'ali omulamu musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako omuzigo. Kaakano mutunule mulabe, effumu lya kabaka n'ensumbi ebibadde emitwetwe we, biri ludda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.