1 Samuel 26:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'ategeera eddoboozi lya Dawudi, n'agamba nti: “Eryo eddoboozi liryo, mwana wange Dawudi?” Ko Dawudi nti: “Eddoboozi lyange, mukama wange kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’ategeera nga ddoboozi lya Dawudi, n’abuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi n’addamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'ategeera nga eryo ly'eddoboozi lya Dawudi, awo n'abuuza nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti, “Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ayi kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'amanya nti eryo eddoboozi lya Dawudi, n'abuuza nti: “Eryo ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti: “Nze njogera mukama wange, ayi kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'amanya eddoboozi lya Dawudi n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Dawudi n'ayogera nti Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ai kabaka.