1 Samuel 26:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Lwaki mukama wange ayigganya omuweereza we? Kiki kye nakola? Musango ki gwe nazza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti, “ Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? Nkoze ki? Oba nzizizza musango ki?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi era n'agamba nti: “Mukama wange, onjigganyiza ki nze omuweereza wo? Nkoze ki? Oba musango ki gwe nzizizza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? kubanga nkoze ki? oba kibi ki ekiri mu mukono gwange?