1 Samuel 26:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka, wulira ebigambo by'omuweereza wo. Oba Mukama y'akusindika okunnumba, akkirize ekitone; oba bantu be bakikola, bavumirirwe mu maaso g'Omukama, kubanga bangobye olwa leero nneme kugabana mu busika bwa Mukama, nga bagamba nti: ‘Genda, oweereze balubaale.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama bwaba nga ye yakulagira okunjiganya, akkirize muwe ekiweebwayo; naye bwe baba nga bantu buntu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga abantu bangobye leero okuva mu nsi ya Mukama ey'obusika bwaffe nga bagamba nti, ‘ Genda oweereze bakatonda abalala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ayi kabaka, nkwegayiridde, mukama wange, owulire ebigambo byange, nze omuweereza wo. Mukama bw'aba nga ye yakulagira okunjigganya, akkirize mmuwe ekiweebwayo. Naye bwe baba nga bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga kaakano bangobye okuva mu nsi ya Mukama, nga bagamba nti: ‘Genda oweereze balubaale.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yakumpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala.