1 Samuel 26:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Zifu, n'abasajja enkumi ssatu abalondobe mu Yisirayeli, n'agenda anoonye Dawudi mu ddungu ly'e Zifu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’abasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu ery’e Zifu, okunoonya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde mu Isiraeri enkumi ssatu (3,000), okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Zifu ng'alina abaserikale Abayisirayeli enkumi ssatu abalondemu, ng'agenze okunoonya Dawudi mu ddungu eryo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde aba Isiraeri enkumi ssatu wamu naye, okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.