1 Samuel 26:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaba omusaayi gwange guleme kuyiika mu nsi ewala okuva mu maaso g'Omukama, kubanga kabaka wa Yisirayeli avuddeyo awenje enkukunyi emu, ng'oli ayigga enkwale mu lusozi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiika mu nsi eteri ya Mukama; kubanga kabaka wa Isiraeri asituse okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omusaayi gwange guleme kuyiibwa mu nsi Mukama mw'atali. Kabaka wa Yisirayeli, azze okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno omusaayi gwange guleme okutonnya wansi Mukama gy'atabeera: kubanga kabaka wa Isiraeri atabadde oknnoonya enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi: