1 Samuel 26:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Nkoze kibi. Komawo, mwana wange Dawudi; sijja kuddayo kukukolera bubi, kubanga olwa leero obulamu bwange obututte nga kya muwendo mu maaso go. Mazima nakola kya busiru; nawubwa nnyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'ayogera nti, “Nnyonoonye; komawo, mwana wange Dawudi, kubanga siryeyongera ku kukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nnasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'addamu nti: “Nkoze bubi, komawo mwana wange Dawudi! Sigenda kwongera kukukolako kabi nate, kubanga otalizza obulamu bwange olwaleero. Ddala mbadde musiru era nsobezza nnyo nnyini.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'ayogera nti Nnyonoonye: komawo, mwana wange Dawudi: kubanga siryeyongera kukukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.