1 Samuel 26:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aweere buli omu ng'alabira ku butuukirivu bwe n'obwesigwa bwe. Olwa leero Omukama yakumpadde mu ngalo zange, ne ssaagala kugololera mukono gwange ku musiige wa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe, kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama asasule buli muntu ng'obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe bwe buli. Olwaleero Mukama yakuwaddeyo mu mikono gyange, naye ne sikukolako kabi kubanga Mukama yakufukako omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe: kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.