1 Samuel 26:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima obulamu bwo nga bwe bussiddwamu ekitiibwa olwa leero mu maaso gange, n'obwange bwe buba bussibwamu ekitiibwa mu maaso g'Omukama, amponye okubonaabona kwonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, n'obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe ntalizza obulamu bwo olwaleero, ne Mukama atalize obulamu bwange, era ampise mu bizibu byonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, obulamu bwange bubeere bwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna.