1 Samuel 26:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Mutabani Dawudi, oweebwe omukisa; okukola ojja kukola era ojja kuwangulanga.” Dawudi n'akwata amakubo ge, ne Sawulo n'adda eka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’addamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.” Awo Dawudi n’agenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi; olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo ewuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Oweebwe omukisa mwana wange! Olikola eby'amaanyi, era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'akwata amakubo ge, ne Sawulo n'addayo mu lubiri lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi: olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula. Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo mu kifo kye.