1 Samuel 26:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Akimeleki Omukitti, ne Abisayi mutabani wa Zeruya muganda wa Yowabu nti: “Ani anaaserengeta nange ewa Sawulo mu lusiisira?” Abisayi n'agamba nti: “Nze nzija kuserengeta naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu nti, “Ani anaaserengeta nange okugenda eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti, “Nze n'agenda naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'abuuza Ahimeleki Omuhiiti, ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya nti: “Ani anaaserengeta nange eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti: “Nze nnaaserengeta naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe.