1 Samuel 26:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne Abisayi ne bagenda ekiro eri eggye, ne basanga Sawulo nga yeebase mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka awo emitwetwe; Abuneri n'abantu be baali beebase okumwetooloola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri n’abaserikale baali beebase okumwetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we; Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we. Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola.