1 Samuel 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abisayi n'agamba Dawudi nti: “Olwa leero Katonda omulabe wo amukuwadde mu mikono gyo; leka mmutungire ku ttaka ku lufumita lumu, sijja kumufumita gwakubiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abisaayi n’agamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo n’effumu. Siimufumite gwakubiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti, “Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero; kale nno, nkwegayiridde, kamufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwatte ne ttaka, simuzzeko lyakubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abisaayi n'agamba Dawudi nti: “Katonda agabudde omulabe wo mu mikono gyo olwaleero. Kale leka mmufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwase n'ettaka, era sijja kufumita gwakubiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero: kale nno, nkwegayiridde, mmufumite n'effumu okukwasa n'ettaka omulundi gumu so siimufumite gwa kubiri.