1 Samuel 26:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Abisayi nti: “Tomuzikiriza. Ani agololera omukono gwe ku musiige w'Omukama n'atazza musango?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza; kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'atabako musango?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Tomuzikiriza. Ddala ani ayinza okukola akabi ku oyo Mukama gwe yafukako omuzigo, n'atabaako musango?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Abisaayi nti Tomuzikiriza: kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'aba nga taliiko musango?