1 Samuel 27:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'alowooza mu mutima gwe nti: “Mu nnaku zino nnyinza okusaanyizibwawo Sawulo. Ekisingako kati kwe kuddukira mu nsi y'Abafilisitiini, olwo Sawulo eby'okunnoonya mu Yisirayeli mwonna alibivaako, nange olwo ndiba nsumattuse mu mikono gye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’afumiitiriza mu mutima gwe ng’agamba nti, “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi y’Abafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti, “Luliba lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo; ekisinga obulungi ka nziruke ŋŋende mu nsi y'Abafirisuuti; Sawulo bwaliba takyandaba mu nsi ya Isiraeri; alinzigyako omwoyo n'alekerawo okunoonya, bwe ntyo bwe ndiwona mu mukono gwa Sawulo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'alowooza mu mutima gwe nti: “Luliba lumu Sawulo n'anzita. Ekisinga obulungi ka nzirukire mangu mu nsi y'Abafilistiya. Olwo Sawulo alirekera awo okunnoonya mu Yisirayeli, era ndiba n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti Luliba lunaku lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo: tewali kisinga bulungi gye ndi okudduka ne ntuuka mu nsi ey'Abafirisuuti; kale Sawulo aliggyayo omwoyo gye ndi, okunnoonya nate mu nsalo zonna eza Isiraeri: bwe ndiwona bwe ntyo mu mukono gwe.