1 Samuel 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyatalizanga musajja na mukazi, era teyabaleetanga Gati, ng'agamba nti: “Sikulwa nga batuloopa ne bagamba nti: ‘Dawudi akola bino na bino.’ ” Era eyo ye yali enkola ye ennaku zonna ze yamala mu kitundu ky'Abafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, sikulwa nga bamuloopa eri kabaka Akisi nti, “Bw'atyo bw'akola era bwayisa kasookedde atuula mu nsi y'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'atalekanga musajja wadde omukazi nga mulamu waleme kubaawo aleeta mawulire e Gaati, ng'agamba nti: “Sikulwa nga batuloopa nga bagamba nti: ‘Dawudi yakola bw'ati ne bw'ati.’ ” Bw'atyo Dawudi bwe yakolanga ebbanga lyonna lye yamala mu nsi y'Abafilistiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti.