1 Samuel 27:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akisi n'akkiriza Dawudi ng'agamba nti: “Yeekyayisizza eri abantu be mu Yisirayeli, kati wa kubeera muweereza wange ebbanga lyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akisi n'eyesiga Dawudi ng'alowooza nti, “Dawudi atamiriddwa ddala abantu be Abaisiraeri; kyanaava abeera omuddu wange ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Akisi ne yeesiga Dawudi, ng'agamba nti: “Ddala yeekyayisizza abantu be Abayisirayeli, ajja kubeeranga muweereza wange ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akisi n'akkiriza Dawudi n'ayogera nti Abantu be Isiraeri abatamiriddwa ddala; kyaliva abeera omuddu wange ennaku zonna.