1 Samuel 27:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Akisi nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso go, nfuniraayo akafo mu kimu ku bibuga byo mu nsi eno gye mba mbeera. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga kya kabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Akisi nti, “Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo; kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga naawe mwoli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Akisi nti: “Bw'oba ng'onsiimye, nzikiriza mbeere mu kamu ku bubuga obw'omu byalo, kubanga ssebo nze omuweereza wo, tewali kintuuza mu kibuga ekikulu awamu naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe?