1 Samuel 27:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akisi ku olwo kwe kumuwa Zikulagi; Zikulagi okuva olwo kyafuuka ekibuga kya bakabaka ba Yuda n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo; Zikulagi kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda na kaakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Akisi n'amuwa akabuga Zikulagi ku lunaku olwo. Era okuva olwo Zikulagi ne kiba kya bakabaka ba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo: Zikulagi kyekivudde kibeera ekya bakabaka ba Yuda na buli kati.