1 Samuel 27:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agendanga ne basajja be ne banyaganga Abagessuri, Abagiruzi n'Abaamaleki. Amawanga ago ge gaaberanga mu nsi eyatuukanga e Suru ne ku Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki; ababeeranga edda mu kitundu ekyo, okuva e Ssuuli okutuuka e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne basajja be ne bambuka ne balumba Abagesuri n'Abagiruzi n'Abamaleki, okuva edda abaali abatuuze b'omu kitundu ekyo, okuva e Suuri okutuukira ddala ku nsalo ne Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu nsi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri.