1 Samuel 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yazindanga ekitundu, nga talekaamu musajja oba mukazi mulamu, kyokka yatwalanga endiga, ente, endogoyi eŋŋamiya, n'ebyambalo. N'akomangawo ewa Akisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'atta abantu obutalekawo musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga, ente, endogoyi, eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo eri Akisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ensi eyo n'agizikiriza n'atalekaamu musajja, wadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamiya, n'ebyambalo, n'alyoka addayo ewa Akisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'atta ensi n'atawonya musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo n'ajja eri Akisi.