1 Samuel 28:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Abafilisitiini ne bakuŋŋaanya amagye okulwanyisa Yisirayeli. Akisi n'agamba Dawudi nti: “Manya nti ggwe ne basajja bo mujja kugenda nange okulwana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti, “Tegeerera ddala ggwe ne basajja nti munagenda nange mu lutalo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe, okulwanyisa Abayisirayeli. Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kimanyire ddala nti ggwe ne basajja bo mujja kugenda nange mu lutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe entalo okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti Tegeerera ddala ng'olitabaala nange mu ggye, ggwe n'abasajja bo.