1 Samuel 28:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'amulayirira mu Mukama nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, tojja kubonerezebwa olwa kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’amulayirira eri Mukama ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, tewali kabi konna kaalikutukako olw'ekigambo kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'amulayirira Mukama, ng'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, tojja kubonerezebwa olw'okukola kino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, tekulikubaako kibonerezo kyonna olw'ekigambo kino.