1 Samuel 28:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi bwe yalaba Samweli, n'aleekaana mu ddoboozi eddene, n'agamba Sawulo nti: “Lwaki wannimbye? Ggwe Sawulo!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene; omukazi n'agamba Sawulo nti, “Onnimbidde ki? Kubanga ggwe Sawulo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi bwe yalaba Samweli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba Sawulo nti: “Onnimbidde ki? Ye ggwe Sawulo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene: omukazi n'agamba Sawulo nti Onnimbidde ki? Kubanga ggwe oli Sawulo.