1 Samuel 28:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amugamba nti: “Totya! Olabye ki?” Omukazi n'agamba Sawulo nti: “Ndabye omuzimu nga guva mu ttaka nga gwambuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amugamba nti, “Totya; naye olaba ki?” Omukazi n'agamba Sawulo nti, “Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amugamba nti: “Totya! Olaba ki?” Omukazi n'addamu nti: “Ndaba lubaale ng'ava mu ttaka ayambuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'amugamba nti Totya: kubanga olaba ki? Omukazi n'agamba Sawulo nti Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.