1 Samuel 28:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amubuuza nti: “Afaanana atya?” N'amuddamu nti: “Musajja mukadde; ayambadde omunagiro.” Sawulo n'ategeera nti ye Samweli, n'akutama wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'amubuuza nti, “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti, “Omukadde ayambuka era nga yeesulidde omunagiro.” Sawulo n'ategeera nga ye Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amubuuza nti: “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti: “Musajja mukadde ye ayambuka, era yeesuuliddeko omunagiro.” Awo Sawulo n'amanya nti ye Samweli, n'avuunama ku ttaka okumuwa ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.