1 Samuel 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Lwaki ontawaanyizza n'onzigyayo?” Sawulo n'agamba nti: “Nsobeddwa nnyo. Abafilisitiini bannwanyisa, ate Katonda yanvaako, takyanziramu, si mu mulanzi, si mu birooto; kyenvudde nkuyita ondage kyemba nkola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?” Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lwaki ongolokosezza okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti, “ Nneeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto; kyenvudde nkuyita ontegeeze bwe mba nkola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'abuuza Sawulo nti: “Lwaki ontawaanyizza ng'ompita okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti: “Neeraliikiridde nnyo! Abafilistiya bannwanyisa, ate Katonda andeseewo, era takyanziramu newaakubadde mu balanzi, wadde mu birooto. Kyenvudde nkuyita ombuulire kye mba nkola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola.