1 Samuel 28:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akoze nga bwe yagamba ng'ayita mu nze. Omukama ayuzizza obwakabaka mu mikono gyo, n'abuwa munno, Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze; okukuggyako obwakabaka bwo nabuuwa muliraanwa wo Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yennyini akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze. Akuggyeeko obwakabaka bwo, n'abuwa munno Dawudi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama yeekoledde omulimu, nga bwe yayogerera mu nze: era Mukama ayuzizza obwakabaka ng'abuggya mu mukono gwo era abuwadde muliraanwa wo, Dawudi.