1 Samuel 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama, n'otoleka busungu bwe kweserera ku Amaleki, Omukama kyavudde akukola ekiringa ekyo olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tewagondera Mukama newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, Mukama kyavudde akukola kino leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga wajeemera ekiragiro kya Mukama n'otatuukiriza busungu bwe obungi ku Bamaleki, kyavudde akukolako ekyo kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero.