1 Samuel 28:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Dawudi n'agamba nti: “Naawe ojja kumanya omuweereza wo ky'asobola okukola.” Akisi n'amugamba nti: “Ggwe ojja kubeera mukuumi wange ennaku zonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Akisi nti, “Onootegeerera ddala omuddu wo kyanaakola.” Akisi n'agamba Dawudi nti, “Kyennava nkufuula omukuumi wange ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti: “Kale, onoomanya nze omuweereza wo, kye nnyinza okukola.” Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kale nja kukufuula omukuumi wange ow'olubeerera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Akisi nti Kyoliva otegeera omuddu wo by'alikola. Akisi n'agamba Dawudi nti Kyendiva nkufuula omukuumi w'omutwe gwange ennaku zonna.