1 Samuel 28:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago Sawulo n'agwa bulambalamba ku ttaka; ebigambo bya Samweli nga bimukanze nnyo; yali talinaamu twanyi, kubanga olunaku lwonna n'ekiro kyonna yali talidde mmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri; naggweeramu ddala amaanyi kubanga yali talina kyalidde ku lunnaku olwo emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Sawulo n'agwa ku ttaka, n'alambaala, ng'atidde nnyo olw'ebyo Samweli bye yayogera. N'aggweeramu ddala amaanyi, kubanga yali talina ky'alidde olunaku lwonna emisana n'ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri: ne mutamusigalamu maanyi; kubanga yali talidde ku mmere yonna okuzibya obudde n'okukeesa.