1 Samuel 28:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'asembera eri Sawulo n'alaba ng'atidde nnyo; n'amugamba nti: “Omuzaana wo yakuwulirizza; nawaddeyo obulamu bwange ne nkola nga bwe waŋŋambye, ne ŋŋondera ebigambo byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti, “Nze omuzaana wo, nnawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti: “Nze omuweereza wo, nawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye.