1 Samuel 28:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agaana, n'agamba nti: “Sijja kulya.” Abaweereza be n'omukazi ne bamusindirira, kyaddaaki n'abawuliriza. Yasituka, n'ava ku ttaka n'atuula ku buliri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.” Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'addamu nti, “Sijja kulya.” Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agaana, n'agamba nti: “Sijja kulya!” Kyokka abaweereza be awamu n'omukazi, ne bamuwaliriza, n'akkiriza kye bamugamba. Awo n'asituka n'ava ku ttaka, n'atuula ku kitanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agaana n'ayogera nti Siirye. Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda.