1 Samuel 28:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi oli yali alina akayana akasavuwaze, n'ayanguwako n'akatta; n'addira obuwunga n'abugoya, n'afumba emigaati egitazimbulukuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi yalinawo ennyana eyassava mu nnyumba. N'ayanguwa n'agitta. N'atoola n'eŋŋaano, n'agigoya, n'afumbamu omugaati ogutazimbulukusiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa: