1 Samuel 28:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli yali amaze okufa; Yisirayeli yenna yamukungubagira, ne bamuziika mu kibuga kye e Rama. Sawulo yali mu nsi agobyemu abalaguzi n'emmandwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali agobye mu nsi ye abo bonna abaaliko emizimu n'abalaguzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli yali afudde. Abayisirayeli bonna baali bamukungubagidde, era nga bamuziise mu kibuga kye e Raama. Sawulo yali agobye abalaguzi n'abasamize mu ggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu.