1 Samuel 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeebuuza ku Mukama, naye Omukama n'atamwanukula, si mu birooto, si na Wurimu, si mu balanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeebuuza ku Mukama, naye Mukama n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo ne yeebuuza ku Mukama, kyokka Mukama n'atamuddamu, wadde mu birooto wadde mu kukozesa Wurimu wadde ng'ayita mu balanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi.