1 Samuel 28:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Sawulo ne yeefuusa, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'agenda n'abasajja babiri ne batuuka ew'omukazi ekiro. N'agamba omukazi nti: “Ndagula ew'omuzimu, ompitireyo gwe nnaakugamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo ne yeefuula n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda wamu ne basajja babiri, eri omukazi oyo ekiro. Sawulo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era onyimusize omuzimu gw'omuntu oyo gwe n'ayogera erinnya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo ne yeefuusa, n'ayambala ebyambalo ebirala. N'agenda ne basajja be babiri eri omukazi oyo ekiro, n'agamba nti: “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era ompitire omuzimu gw'omuntu oyo, gwe nnaayogera erinnya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo ne yeekyusa n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda, ye n'abasajja babiri naye, be bajja eri omukazi ekiro: n'ayogera nti Ndagula, nkwegayiridde, n'omuzimu, onninnyisize buli gwe nnaakugambako erinnya.