1 Samuel 28:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'amugamba nti: “Naawe omanyi Sawulo kye yakola, nga bwe yagoba mu nsi abalaguzi bonna n'emmandwa. Lwaki obulamu bwange obussa mu katego okunzita?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'amugamba nti, “Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu n'abalaguzi; lwaki ontega ekyambika okunzisa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'amugamba nti: “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yamalawo abalaguzi n'abasamize mu Yisirayeli. Kale kaakano lwaki ogezaako okunkema, n'okunsuula mu mutego okunzisa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi n'amugamba nti Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu, n'abafumu: kale kiki ekikuteeza obulamu bwange ekyambika okunzisa.