1 Samuel 29:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ku makya, situla ggwe n'abaweereza ba mukama wo abajja naawe; ku makya ng'obudde butandise okulaba, bwe munaazuukuka musitule mugende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu n’abasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno situka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe; awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno enkya, ggwe n'abaweereza ba mukama wo, abajja naawe, mujja kuzuukuka mu makya, mugende amangu ddala ng'obudde bwakalaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.