1 Samuel 29:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu b'Abafilisitiini ne bagamba nti: “Abeebureeyi bano baagala ki?” Akisi n'agamba abakungu Abafilisitiini nti: “Ono si ye Dawudi, eyali omuweereza wa Sawulo kabaka wa Yisirayeli? Amaze ewange ebbanga erisoba mu mwaka; okuva lwe yaddukira ewange n'okutuusa ku lunaku lwa leero simusangangamu kabi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?” Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti, “Abaebbulaniya bakola ki wano?” Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti, “Ono Dawudi omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, yaakamala nange ennaku nnyingi; naye sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaduumizi b'Abafilistiya ne babagamba nti: “Abeebureeyi bano bakola ki wano?” Akisi n'agamba abaduumizi b'Abafilistiya nti: “Ono ye Dawudi omuweereza wa Sawulo kabaka wa Yisirayeli. Abadde nange okumala ebbanga ddene, era sirina kibi kye nali mmulabyeko, okuva lwe yansenga n'okutuusa kati.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero?