1 Samuel 29:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu Abafilisitiini ne bamunyiigira, ne bamugamba nti: Omusajja ono musiibule, addeyo mu kifo kye mwe wamuteeka; tagenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atufuukira omulabe nga tutandise okulwana. Ngeri ki gy'asobola okusanyusaamu mukama we wabula n'emitwe gy'abasajja bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaduumizi b’Abafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bw’amutwalira emitwe gy’abasajja baffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaduumizi b'Abafirisuuti ne basunguwalira Akisi, ne bamugamba nti, “Lagira omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa, aleme kugenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atuuka mu lutalo n'afuuka omulabe waffe. Ogamba omusajja ono tajja kutabagana ne mukama we aweeyo emitwe gy'abasajja baffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abaduumizi b'Abafilistiya ne basunguwalira Akisi, ne bamugamba nti: “Lagira omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa, aleme kugenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atuuka mu lutalo n'afuuka omulabe waffe. Ogamba omusajja ono tajja kwetabaganya ne mukama we ng'awaayo mitwe gy'abaserikale baffe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano?