1 Samuel 29:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono si ye Dawudi gwe baayimbanga nga bazina nti: “ ‘Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi obukumi bwe?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti, “ ‘Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi asse emitwalo gye?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti,” “ ‘Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi emitwalo gye?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ono si ye Dawudi gwe baayimbanga nga bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo yatta nkumi, sso Dawudi mitwalo’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?