1 Samuel 29:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akisi kwe kuyita Dawudi n'amugamba nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, obadde mutuufu era mulungi mu maaso gange, nandisanyuse okugenda naawe mu lusiisira. Okuva lwe wajja gye ndi, sikusangangamu kabi na kamu n'okutuusa ku lunaku lwa leero; naye abafuzi tobasanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akisi n’ayita Dawudi n’amugamba nti, “Amazima ddala nga Mukama bw’ali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi n’okutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange; kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero, naye abaami tebakwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, obadde mwesigwa. Ku lwange ndaba nga kirungi okukuleka ne tugenda ffenna mu lutalo, kubanga sikulabangako nsobi okuva lwe wajja gye ndi n'okutuusa kati. Naye abafuzi abalala tebakwagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala.